
Poliisi ezzeemu okulabula nti abatujju bakulumba eggwanga
Mu bbaluwa essiddwaako omukono gwa ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura, poliisi etegeezeza nga bw’efunye amawulire agesigika nti abatujju balina enteekateeka ezirumba Uganda olunaku lw’enkya nga batunuulidde Kampala n’ebitundu by’omuliraano
Kaihura agambye nti era bafunye amawulire nti waliwo abavubuka abagaala okukola akavuyo mu kibuga olunaku lw’enkya nga bagenda kusoma abantu okubatwala ku kisaawe Entebbe kyokka n’alabula nti kino tekijja kusoboka
Ono agamba nti poliisi ng’eri wamu n’ebitongole ebikuuma ddembe bakwongera okuyiwa abantu baabwe mu kibuga okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna
Kino kizze olunaku lumu lwokka ng’abatujju balumbye Somliana ne Tunisia ne batta abawera