Skip to content Skip to footer

Ssabassajja akunze ku bitone

Ssabasajja  Kabaka akkatirizza obukulu bw’okutumbula ebitone mu baana nada okuyimba, amazina n’emizanyo nadala mu masomero.

Omutanda agambye nti mu bitonde omuli n’emizanyo abaana basobola okufuna ensimbi wamu n’okutumbula embeera zabwe.

Nyinimu era yebaziza amasomero agakwatiddeko abayizi mu kutumbula ebitone byabwe nadala ngagabawa zi basale.

Ssabasajja okwongera bino abadde ku somero lya St Lawrence SS e Ssonde mu Kyaggwe ngakwassa esomero lya Hands of Grace ss engabo n’obukadde 3, oluvanyuma lw’okusinga amasomero amalala gona mu buganda mu kuyimba.

Ye Katikiro wa Buganda Charles Mayiga asabye abaana okukozesa omukisa okubawereddwa kabaka okutumbula ebitone byabwe.

Leave a comment

0.0/5