Bya Malik Fahad
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kyamulibwa mu disitulikiti ye Kalungu oluvanyuma lw’omusajja okutuga kitaawe naye oluvanyuma neyetuga.
John Ssempaka myaka 35 nga mutuuze ku kyalo Ssebijja Village y’asse kitaawe Ronald Kalegeya myaka 60 oluvanyuma naye neyejja mu budde.
Ettemu livudde ku Taata kugenda kutaasa mukamwanawe ku Ssempaka abadde amuggunda nga amubuuza gy’abadde eyenjeledde era olw’obusungu n’adda ku kitaawe abadde amumutaasako naye n’amutuga n’amutta olvanyuma n’ayingira mu kisenge neyetugisa akatimba k’ensiri.
Hussein Katamba nga ye ssentebe ku kyalo Ssensamba agamba omuvubuka ono yagwako eddalu wabula teyajanjabibwa nga kyandiba nga kulono eddalu lyakuze n’akola kino.
Omwogezi wa poliisi mu masserengeta ga Uganda Lameck Kigozi akakasizza ettemu lino n’ategeeza nga emirambo bwegitwaliddwa mu ddwaliro ly’e Masaka okwongera okwekebejebwa.