Nga abayisiraamu bagenda basonjola omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan, baweereddwa amagezi okwongera ku mirimu emilungi gyebakola mu nnaku zino ezisembayo.
Olwaleero abayisiraamu basiiba olunaku lwabwe olwe 17.
Kati Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi Ahmed Sulaiman Kyeyune agamba abayisiraamu essira essaawa zino lisanye kubeera ku nnaku 10 ezisembayo omuli n’ekiro kya “Lailatula Khadir” ekyaggwa edda okugera nga muno mukama Katonda mwagerera ebituuka kubuli Muntu.
Imam Kyeyune agamba omusiraamu essaawa eno alina kwebaka kitono wabula n’ayitiriza okusaala okwongera okwenyagira empeera.
Imam agamba buli mulimu gubalibwa ku nkomerero yaagwo kale buli omu asanye okwenyeza okulaba nga omwezi gwa Ramadhan agumalako nga asiimiddwa mukama Katonda.
Okusinziira ku Hadith z’obuyisiraamu, omubaka nabbi Muhammad buli ennaku zino ezisembayo bwezatuukanga nga kumpi obudde obusinga abumalira mu muzikiti.