Bya Ruth Anderah
Munansi wa Rwanda Moses Ishimye Lutale abadde avunanaidwa okuyingira mu Uganda mungeri, emenya amateeka awereddwa okweyimirirwa, mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka mu kooti ye Nakawa Fiona Shiela Angura.
Ono ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 2 nabantu abamweyimiridde 2, ku bukadde 10 ezitabadde za buliwo.
Ono alagiddwa okuddanga eri kooti buli lwanabanga yitiddwa.
Okusinziira ku munamateeka womuvunanwa Daniel Walyemera, omuntu we yakwatibwa mu December womwaka oguwedde okumpi nekitongole kya CMI e Bugolobi, ngagamba nti yaliana enyumba okumpi gyagenzeemu okusaba.
Kooti ekitegeddeko nti omuvunanwa yayingira Uganda nga October 26th 2018 ngayita ku nsalo e Katuna mungeri emenya amateeka.
Omusango kati gwongezeddwayo okutukira ddala nga April 1st 2019, lwegunaddamu okusomebwa.