Bya samuel ssebuliba.
Omulodi w’ekibuga Kampala Ssalongo Erias Lukwago adukidde mu kakiiko akalera edembe ly’obuntu aka uganda Human rights commission , nga y’emulugunya olwa police okumukwata nga eky’onziira sabiiti .
Kinajkirwa nti sabiiti ewedde bweyali agenda okwetaba munkola eya ‘’Togibikula’’ Police yamkwata mubukambwe obwekitalo.
Kati leero Lukwago adukidde eri akakiiko kano nga agamba nti bano baamunyiga n’obusajja, kko n’okumalamu ekitiibwa .
Mukaseera kano Lukwago ayagala aliyirirwe obukadde 700.
