Bya shamim Nateebwa.
Omubaka wa Kyandondo East mu parliament Robert Ssentamu Kyagulanyi,ategezezza nga bwatagenda kutisibwatiisibwa police olw’emisango egy’amugudwako.
Kinajukirwa nti amangu dala nga yakadda okuva e bunayira akawungezi akayise , Kyagulanyi ono yakwatidwa police n’emuvunaana omusango ogw’okukuma omuliro mu bantu nga ayita mu katambi akamaloboozi keyakola nga tanava mu gwanga.
Ono mungeri yeemu asambazze ebize byogerwa nti yaweereddwa ssente okuva ewa naggagga Bill gates nga zino zakweyambisa mukuvuunika government
Mukwogerako ne banamawulire Kyagulanyi agambye nti yayitibwa ku mirimu emitongole mu kibuga New York okw’etaba mu lukung’aana lw’ebyobulamu n’okwogera ku nsonga z’aba maama abafiira mu ssanya n’ensonga endala nnyingi, kale nga ebyogerwa police ye tabitegeera.