Skip to content Skip to footer

Omukazi attiddwa e Kireka

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze mu Acholi Quarter mu Kireka D e Namugongo mu district ye Wakiso baguddemu entiisa bwebagudde ku mulambo gwo’mwana omuwala atemera mu myaka 20 nga gwasuliddwa mu nsiko ku ttaka lya SDA Church e Kireka.

Kitegezeddwa nti wabaddewo omwana alabye omulambo guno era yatemezza ku batuuze, abasutikiddemu.

Omugenzi ategerekeseko erya Everline ngabadde yasooka nga kigambibwa nti abadde akola mu Bbaala ate ngoluusi akuba namayinja mu kirombe.

Police okuva ku Jinja Road ereese embwa ezikonga oluusu ezisibidde ku muzigo ogumu wabulanga gubadde musibe.

Sentebe wa Kireka D Umar Muyanja aliko byanyonyodde, nsaba abekwerinda okukola ogwabwe.

Ono era asabye nabantu babulijjo okufaayo okwekuuma kuba gavumenti yandiba ngeremereddwa.

Leave a comment

0.0/5