Skip to content Skip to footer

Omwana asse munne

File Photo: Akambe nga kaliko omusaayi
File Photo: Akambe nga kaliko omusaayi

Poliisi e Kiwatule aliko omuwala ow’emyaka 14 afumise mwana munne akaso n’amutta.

Gw’asse wa myaka 4

Omwana ono Gudaike Nanse abadde akalakata byanyanja , omuto n’ajja okumutawaanya era mu busungu n’amusogga akaso n’afa.

Bino bibadde mu zooni ya Wabidugu e Kiwaatule

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti omwana afudde oluvanyuma lw’okuvaamu omusaayi omungi.

Enanga agambye nti omwana ono adduse oluvanyuma lw’okukola ekikolwa kino nga kati bali mu kukunya ababaddewo okunyonyola ebisingawo.

Leave a comment

0.0/5