Agava e Kasangati galaga nga eyakwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr Kiiza Besigye bw’azzemu okukwatibwa .
Poliisi ekutte Besigye bw’abadde agezaako okufuluma amakage era atwaliddwa mu kifo ekitanategerekeka.
Mungeri yeemu ab’ekibiina kya FDC baweze obutaddukira mpapula okwalangiriddwa pulezidenti Museveni ku buwanguzi mu kalulu k’omukulembeze w’eggwanga akaakaggwa okutuusa nga Besigye ayimbuddwa.
Besigye azze akwatibwa n’okukuumibwa mu nyumbaye okuva ku lwokuna lwa ssabbiiti ewedde.
Ssentebe w’ekibiina kya FDC Wasswa Birigwa agamba bateekateeka kugenda mu kkooti ku kya poliisi okwezinga mu maka ga Besigye wamu ne ofiisi z’ekibiina kyabwe e Najjanankumbi.
Birigwa on Tally Sheets…lug
Kko akakiiko k’ebyokulonda kagamba buli eyesimbyewo ku bwapulezidenti nga ayagala empapula okwalangiriddwa omuwanguzi waddembe okuziddukira.