Skip to content Skip to footer

Kattikiro alambudde amasiro nalaga okusomozebwa okuliwo

Bya Shamim Nateebwa

Olwaleero Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde emirimu egigenda mu maaso ku Masiro e Kasubi n’ekigendererwa eky’okufuna ekifananyi ekituufu, kawefube w’okuddaabiriza ennyumba Muzibwazalampanga watuuse.

Bwabadde alambula, Katikkiro akinogaanyizza nti Okuzimba Muzibwazalampanga tekiringa kuzimba nnyumba ya bulijjo olw’emisoso egirina okugobererwa.

Kati owembuga agambye nti ebimu ku bisinze okuletawo okusoomoozebwa mu kaweefube w’okuddabiriza Muzibwazalampanga kuliko, ekyokuba nti omulimu gwetaaga nnyo obukugu, emmuli za bbula, n’ebikozesebwa mu kuzimba bigula ensimbi nnyingi.

Wabula agasseeko nti Obuganda butandise okufuna essuubi kubanga omulimu gw’emmuli gusemberedde okuggwa, olwo ogw’okusereka waggulu gutandike.

kati akulemberamu okusereka Muzibwazalampanga, Wabulakayole agambye nti kati webatuuse basemberedde okumaliriza emirimu gy’omunda batandike egye bweru.

Mungeri yeemu Katikkiro asiimye aba Nkerettanyi olw’okufissa obudde nebawawula emmuli ezikozesebwa.

Mu kulambula kwa leero Katikkiro abadde n’owekitiibwa Kaddu Kiberu akulira emirimu gw’okuzzaawo Amasiro, Minisita avunanyizibwa ku by’obulambuzi Owek. Denis Walusimbi Ssengendo, Owek. Amb Bill Matovu, Owek. Noah Kiyimba, Owek. Richard Mulema Mukasa, Owek. Henry Sekabembe Kiberu ne Oweek Ritah Namyalo.

Leave a comment

0.0/5