Bya Benjamin Jumbe
Omubaka wa munispaali eye Mityana Francis Zaake avunaniddwa mu butongole omusango gwokulya mu nsi olukwe, noluvanyuma nasindikibwa ku alimanda.
Ono asimbiddwa mu kooti ento e Gulu emusindise ku alimanda okutukira ddala ngennaku zomwezi 14 mu march.
Omubaka ono yakwatiddwa mu Kampala mu kiro ekyakesezza olunnaku lwa leero, era bwabadde bukya nebamutwala mu district ye Arua.
Kati mu kusooka avunaniddwa mu kooti ento e Arua omusango gwokutoloka mu kadukulu ka poliisi, era nayimbulwa wabulanga azeemu nakwatibwa amangu ddala.
Kooti ebadde emuyimbudde ku kakalu kaayo ka bukadde 50, ezitabadde za buliwo.
Zaake n’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi aamanyiddwa nga Bobi Wine, bebamu ku bantu 33 abagulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe, nga kigambibwa baakuba mmotoka y’omukulembeze we gwang amayinja, mu biseera byokulonda kwomubaka wa munisipaali ye Arua, mu August womwaka oguwedde.