Skip to content Skip to footer

Abakozesa obubi enguudo bubakeredde

Bya Kyeyune Moses

Gavumenti eri mu ntekateeka okuleeta ekibonerezo ekyakuwa engasi ya bukadde 200, eri abavuga endiima ku nguudo.

Mungeri yeemu era gavumenti yaakubonereza, naabo abavuga empola obutaweza speed ezirambikiddwa ku nguudo ezenjawulo.

Bino biri mu bbago eryenkozesa yenguudo erya Road Bill, 2018 kakano eriri mu palamenti.

Mu teeka lino era mulimu ebibonerezo ebikakali, eri abookya ebipiira mu nguudo, abazisimamau ebinnya, azitagaliramu nga batamidde nebiralala.

Ebiralala era etteeka lyakubonereza nabasuula kasasiro mu nguudo.

Ate amabbali ge kkubo oba road reserve gagziyiddwa okutuuka ku meter 40, okuva mu Makati goluguudo.

Leave a comment

0.0/5