Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 akoze enkyukakyuka mu muba minister be, nabakulira ebitongole mu bwakabaka bwa Buganda.
Mu bakyusiddwa kuliko Owek. Apollo Nelson Makubuya, abadde omumyuka wa Kattikiro asooka nga kati afuliiddwao muwi wamagezi.
Owek. Nelson Kawalya abadde sipiika wa Buganda awumuziddwa ate Kaggo Patrick Luwagga Mugumbule, nalondebwa nga sipiika omugya.
Abadde Ssabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda Owek. Daudi Mpanga alondeddwa ngomuwi wamagezi era asikizibwa Owek. Christopher Bwanika, akulemberamu banamateeka ba Kabaka abattunka ne Male Mabiriizi mu musango gw’ettaka gwe.
Owek. Kyewalabye Male abadde akulira ekitongole kya Buganda Land Board alidde obwaminista w’ebyobuwangwa n’ennono (avunaanyizibwa ku bulambuzi, Oluganda, ebifo ebyenkizo, embiri, amasiro n’ebyokwerinda)
Minister wolukiiko, kabineeti, amawulire, abagenyi era omwogezi wobwakabaka, owek. Noah Kiyimba yakaksizza enkyukayuka zino, ngagambye nti omuteregga asiimye okuwummuza ba minister abamu era naaboko abalala baalonda abajjuvu.