Skip to content Skip to footer

Besigye ayimbulwe- bannakyeewa n’ebibiina

Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kasabye gavumenti okutwala Dr Kiiza Besigye mu kkooti mu kifo ky’okumulemesa okwetaaya.

Ssentebe w’akakiiko akalondesa omukulu Meddie Kaggwa agamba nti mu kadde kano gavumenti ky’eriko kulinyirira ddembe lya Dr Besigye.

Besigye yakakwatibwa emirundi etaano bukyanga kulonda kuggwa nga bwebamuggalira mu maka ge era okuva olwo taddangamu kulya butaala

Kati Kaggwa agamba nti kino kirina okukoma.

N’ab’ekibiina kya DP bagasse eddoboozi ku basaba nti Dr Kiiza Besigye ayimbulwe

Omwogezi wa DP, Paul Kenneth Kakande agambye nti okukwatibwa kwa Besigye kugendereddwaamu kukanga bantu.

Kakande agamba nti mu ngeri yeemu tewali na nsonga lwaki poliisi eremera ku nyumba y’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi.

Kati bano bateekateeka okusisinkana ab’ebibiina ebivuganya ebirala okukkaanya ku kiki eky’okukolera embeera eno.

Kakande plan B

Negyebuli kati Dr Kiiza Besigye akyaakumibwa ku poliisi e Naggalama oluvanyuma lw’okuddamu okukwatibwa.

Besigye akwatiddwa bw’abadde afuluma amaka ge e Kasangati.

Leave a comment

0.0/5