Ab’enganda z’omulenzi eyakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa okwabadde e Kasese bakutte wansi ne waggulu nga bagaala kuliyirirwa.
Taata w’omulenzi ono Ali Wabiswa agamba nti babawadde obukadde buna okukola ku byokuziika kyokka ssente zino tezisobola kuzzaawo bulamu bwa mwana waabwe.
Kati bano bawadde gavumenti wiiki emu okubaliyirira oba bakulangirira ekiddirira
Omwana eyattibwa ya mu kibiina kya kuna nga yagendera mu kavuyo akaali ku disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’akakiiko akalondesa okulwaawo okulangirira ebivudde mu kulonda.
Aduumira poliisi mu bitundu bino Bob Kagarura agamba nti kano baali kabenje era nga aba famire babasaasira.
Muganda w’omugenzi Mumbere Bakoko agamba nti bamaze okufuna ba looya bana okukola ku nsonag eno.