Bya Ruth Anderah.
Esiga eddamuzi nakaakano likyalajana olw’abalamuzi abatamala , bebagamba nti bebaviirideko emisango okwetuuma.
Solomon Muyita nga ono yaakola ku by’amawulire mu kitongole ekiramuzi agamba nti mu mwaka guno 2017 basobodde okwongera ku bungi bw’amakooti , kyoka bbo abalamuzi tebeyongedeeko.
Muyita agamba nti kooti ento mu gwanga lyona zaali 38 naye kati ziri 82 ate kkooti enkulu zibadde 13 naye guno omwaka ziweze 20.
