Bya Samuel Ssebuliba.
Abafumbo nadala abasajja basabiddwa okufaayo okugula buli kyetagisa eri abantu bebalabirira, kino kitaase obufumbo okusasika mukadde nga kano ak’ebikujuko..
Ali male nga ono y’ayogerera ekibiina ekitaba abakola ogw’okubudabuda abantu , n’agamba nti abasajja nadala abalina abakyala ababiri batera obutafaayo ku famile zaabwe zona ky’enkanyi, kyagamba nti kikyamu kuba kitera okuviirako obusambatuko.
Ono agamba nti mukadde nga kano abasajja bagwana balage obw’enkanya mungabanya y’ebintu byebagenda okugulira abantu gaabwe.
