Bya Shamim Nateebwa
Olwaleero Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ngali n’omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa, nebaminisita ba Kabaka, balambudde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Muzibwazalampanga wegutuuse.
Egimu ku mikolo egikoleddwa, Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa asimbye empagi ku Wankaaki wa Muzibwazalampanga ng’akabonero akategeeza nti ekiseera eky’okuwunda Wankaaki kituuse.
Omukolo gw’okusimba empagi eno gwa nnono era gukolebwa Kiwewa.
Empagi esimbiddwa yeemu kwezo ezitambuza oluggi lwa Wankaaki.
Mu kwogera kwe, Katikkiro agambye nti okutwaliza awamu omulimu gutambula bulungi era tewali kyeraliikiriza kubanga bagoberera ennono, emisoso n’emikolo egy’ennono gyonna nga bwejitekeddwa okubeera.
Omulangira Jjunju Kiwewa atuusizza okusiima kwa Ssaabasajja era awadde abagirinya embuzi olw’okubeebaza okusereka Muzibwazalampanga.
Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi, David Kyewalabye Male, agambye nti oluvannyuma lw’omulyango gwa Bwanga okuggwa, emirimu egisigadde gyakwanguwa.