Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi Ge David Sejusa kkooti y’amagye emuganye okweyimirirwa nebamuzza ku mere e Luzira okutuusa nga 11 March 2016 okuwulira omusango gwe kutandike.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Col. Asingura Kagolo lutegezezza nga okunonyereza bwekuwedde.
Kkooti eno nga ekubirizibwa ssentebe waayo Maj. General Levy Karuhanga etegezezza nti General omulamba alina kweyimirirwa ba General banne sso ssi bantu babulijjo ababadde bazze okumweyimirira okuli loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ne Dr. Deo Kizito Lukyamuzi
Sejusa avunanibwa emisango 5 okuli okunyooma bakamaabe wamu n’okwetaba mu by’obufuzi nga akyali mu magye.
Wabula bannamateeka ba sejusa nga bakulembeddwamu David Musahabe bagmabye nti bakujulira mu kkooti y’amagye ejulirwamu