Bya Ben Jumbe.
Minisita akola ku by’okwerinda Gen Elly Tumwine asabye banamawulire okutandika okukolagana obulungi ne banamajje kino kikendeeze ku bukuubagano obususse.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano mu Kampala, Gen Tuwmine agambye nti amajje tegawagira bikwolwa byakukuba bantu naddala banamawulire, kale nga yenna akikoze wakukangavulwa nga omuntu.
Wabula ono asabye banamawulire, okukoma okumala gawandiika buli mawulire amabi agakwatagana ne Uganda kubanga kino kittatana ekifananyi kya Uganda.