Skip to content Skip to footer

Akakiiko kaanukudde Mbabazi

Akakiiko k’ebyokulonda kyaddaaki kaanukudde ow’omukago gwa Go- Forward ku by’okutataganya enkungaana ze nga yatuuka n’okubakiba mu kkooti y’ensi yonna.

 

Mu bbaluwa etereddwako omukono ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu, akakiiko k’ebyokulonda kalagidde ssabapoliisi w’eggwanga ayanguwe mangu okunonyereza ku kwemulugunya kwa Mbabazi.

 

Kiggundu agamba bakubaako nekyebakola amangu ddala nga bafunye alipoota okuva mu poliisi.

 

Omukulembeze w’eggwanga awereddwako kopi ku bbaluwa eno wamu ne ssabawaabi wa kkooti y’ensi yonna.

 

Mbabazi yemulugunya ku kutataganya kw’enkungaana ze nga alumiriza aba gavumenti eri mu buyinza okukibeera emabega.

Leave a comment

0.0/5