Akakiiko akalondesa kasabye poliisi mu bwangu okunonyereza ku ffujjo eryakoleddwa mu disitulikiti ye Ntungamo olunaku lwajjo.
Akakiiko kano kavumiridde ekikolwa kino nga kagamba nti kiyinza okwongera obuvuyo mu bitundu ebirala.
Akakiiko era katandise okufulumya enkalala okuli ebifo ebigenda okukolndebwaamu ebye’enkomeredde
Abalonzi bbo bawerera ddala obukadde 15 okusinziira ku bifulumiziddwa era ng’abesimbyeewo bonna bakuweebwaako ku nkalala zino.
Akulira akakiiko Eng Badru Kiggundu asabye abeesimbyeewo okutandika okugamba abantu okwetegekera okulonda.
Poliisi ekutte abantu babiri ku kavuyo akabadde e Ntungamo.
Abawagizi ba Mbabazi ne Museveni bakubaganye mizibu olunaku lwajjo nga Mbabazi akuba olukungaana mu kitundu.
Kyaddiridde aba NRM ababadde mu mujoozi kya Museveni okugezaako okulinnya eggere mu lukungaana lwa Mbabazi.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti abantu mwenda beebalumiziddwa ate 2 bakwate
Ono agambye nti mukama we Gen Kale Kaihura amaze okugumba mu kitundu okutegeera ekituufu ekyazadde ebizibu.