Skip to content Skip to footer

E Kyambogo bazuddeyo COVID-19

Bya Ritah Kemigisa

Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Kyambogo Prof Elly Katunguka yimirizza okusoma okwobuliwo, nalagira abayizi baddemu okusomera ku mutimbagano.

Kino kidiridde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, okugoba ku univasite eno.

Bano baliko abalwadde 8 bebazudde ku ttendekero, nga 6 ku bbo bayizi abalala bakozi.

Prof Katunguka agambye nti ngojeeko bebakakasizza, abayizi abalala balina obubonero ngekibufa ekikambwe nebiralala.

Agambye nti okwewala embeera okubatabangukako, basazeewo abayizi babsindike awaka.

Leave a comment

0.0/5