Skip to content Skip to footer

Amasomero galabudwa ku laddu mu kaseera kano ekenkuba.

Bya Shamim Nateebwa.

Amasomero gasabidwa okwanguwa okugula obuuma obukwata laddu, nadala mu kaseera kano nga twakalabulwa nga laddu bwezigenda okutandika.

Gy’ebuvudeko okulabula okwavudde mu kitongole ekikola ku ntebereza y’obudde  kwalaze nga enkuba eno egenda okutonya nadala wano okwetoloola enyanja Nalubaale bwegenda okubaamu ne laddu, nga kwogasse n’okwanjaala kwamazzi.

Kati twogedeko ne minisita  wa Buganda akola ku by’enjigiriza Hajji Twaha Kawaase n’agamba nti abasomesa, ko n’abakulira amasomero bagwana okubeera ebegendereza enyo mu kasera kano kubanga laddu zimanyidwa nyo mukukuba amasomero.

Leave a comment

0.0/5