Skip to content Skip to footer

Police okutendekebwa mu by’ekinamagye kiwakanyiziddwa.

Bya Samuel ssebuliba.

Ebibiina ebirwanirira edembe ly’obuntu bisabya amyuka Ssabapolice we gwanga omujja Brigadier Muzeeyi Sabiiti  obutageza kutandika kutendeka police ye gwanga ng’atendeka amagye.

Kinajukirwa nti  omukulu ono bweyabadde afulumya abaserikale abaabade mu kutendekebwa wano e Kigo,  yagambye nti ye talaba njawulo wakati wa police n’amagye, kale nga police egwanga okwetegeka okukola emirimo nga egyamagye singa eba ekoowodwa.

Kati twogedeko n’akulira ekibiina ekya Foundation for human rights initiative nga ono ye Dr Livingston Ssewanyana n’agamba nti kino singa kikolebwa okusambirira edembe ly’obuntu kwakweyongera.

Ono agamba nti kituufu bino byona bitongole bikuma , dembe, wabula nga bikola emirimo gyanjawulo, kale nga mpaawo kigwa  kukyusibwa.

Leave a comment

0.0/5