E mubende police etegeezeza nga bwekutte akulira eby’okwerinda ku gombolola muyite GISO nga ono bamulanze kwetaba mukubba nte.
Akwatiddwa ye Nkangi Mathias , nga no ye GISO wa Mubende municipality.
Ono okukwatibwa agidiridde omutuuze Muwereza Birimumaaso okumulumiriza nga bweyabye enteeze ku kyalo Kibyayi .
Nanyini Nte ategezezza nga bweyawulidde atwala Enteze kwekutemya ku batuuze ne basobola okukwata Nkangi nga atwala Ente eno.
Omwogezi wa police atwala Wamala Region Nobert Ochom akakasizza nga GISO ono bwagidwako statement nga n’okunonyereza bwekugenda maaso.