Bya Ben Jumbe.
Govumenti esabiddwa okuvaayo ekole okunonyereza ku byetago byabantu abaafunye emitawaana gy’okubumbulukuka kwetaka wano e Bududa.
Kuno okuwabula kukoleddwa Hadijah Mwanje akulira ekibiina ekya High sound for Children , nadala mu kaseera kano nga ebibiina eby’enjawulo biyambako government mukudukirira abakoseddwa enjage eyagudde e Bududa district.
Ono agamba nti enjega eno erese abaana abasinga nga bamulekwa, kyoka kyanaku nti obuyambi obugenda gyebali bukyali bwamunyoto.
Kati ono agamba nti kyetagisa government okutandika okubudabuda abaana abaasimatuse enjega eno, songa mungeri yeemu abalina okusoma baweebwe ebikozesebwa