Bya Prossy Kisakye
Mu kawefube w’okugoba obwavu mu maka omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni akkutidde abakristu okukola emirimu egibawa enyingiza mu maka.
Pulezidenti okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okujaguza bwe giweze emyaka 100 bukya ekelezia ya bassodokisi etandikawo mu uganda.
Ku mukolo gwe gumu wabadewo n’okusonda ensimbi ez’okusimba Aghlia Sophia kasidulo ya bassodokisi e Namungoona mu Kampala.
Wano museveni wasabidde abakristu okwenyigira mu by’obulimi, ebya technologia, amakolero amatonotono n’okuvuga bodaboda basobole okufuna kye bateeka munsawo zaabwe kibasobozese n’okuzimba emirimu gy’omukama
Museveni awaddeyo obukadde 300 ziyambeko mu kuzimba kasidulo era neyeyama okusakirira ekelezia mu mikwano gye emitala w’amayanja okulaba ng’eggwa.