Bya Rita Kemigisa
Pulezidenti Yoweri Museveni avumiridde engeri police gye yakwatamu omubaka w’ekyadondo east mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Robert Kyagulanyi oluvanyuma lw’okusazamu ekivulu kye e busabaala ku Esther Monday
Kinajukirirwa nti poliisi yamenya endabirwamu z’emotoka ya Bobi Wine ne mukubamu omukka ogubalagala okusobola okugimufulumya.
Wabula museveni avumiridde enkola ya police nategeza nti wakiri bali sise emotoka yye okutugitwala we baali bagala.
Museveni azzemu nakkatiriza nti enkungana zokka eziri ku mulamwa z’ezigenda okukkirizibwa wabula ezzo ezigenderera okusiga obukyayi n’okuseketerera govt sizakukkirizibwa kugenda mu maaso mu ggwanga lino.