Bya Prossy Kisakye
Aba Uganda Muslim supreme council e kampala mukadde balangiridde nti olunaku lw’enkya nga 6th may abayisiramu lwe bayigira omwezi omutukuvu ogwa ramathan n’okusiiba
Akulira sharia ku muzikiti gwa Kampala mukadde Sheikh Yahaya Kakungulu akikatiriza nti okusiiba kutandika lunaku lw’ankya engeri omwezi gye gutabonese olunaku lw’eggulo
Ono era ategezeeza nga okusaala Tarawiya kujja kubangawo buli lunaku ku muzikiti omukulu okuyita mu mwezi omutukuvu gwonna. Songa ate n’okusaala dalasi kwa kubangawo buli lwa Sunday mu mwezi guno ogwa Ramadan