Bya Shamim Nateebwa ne Ivan Ssenabulya
Obwakabaka bwa Buganda buli mu ketalo nga bwetegekera enfuga eya federal.
Bino byogeddwa kamalabyonna w’obwakabaka Charles Peter Mayiga, ng’agambye nti alina essuubi luliba olwo Buganda netuuka ku nfuga yaayo eya federal.
Ategezezza ngenkyukakyuka ezakolebwa Beene, mu gavumenti ye bwezirubiridde okutuusa Buganda ku kirooto kyayo kino.
Bino abyogeredde mu lukiiko lwa Buganda olutuula olwo-ku 4 olwomulundi ogwa 26.
Mu nkyukakyuka ezakolebwa ministry zaatongozebwa, newabawo nebaawumuza.
Kati mu lukiiko luno olubadde lukubirizibwa sipiika omugya Patrick Luwagga Mugumbule, lubaddemu okujjukira nokusiima emirimu egyakolebwa taata wa Maama wa Buganda Nabagereka Silvia Naginda, omugenzi John Mulumba Luswata.
Wano era wabaddewo okwaniriza omukiise omugya mu lukiiko Owek David Kiwalabye Male.
Ono alayidde okuwereza ssabasajja nokukuuma ebyama byokukiiko, nebya Ssabasajja Kabaka.