Bya Ssebuliba Samuel.
Amyuka sipiika wa palament ya Uganda Jacob Oualanya alagidde ssabaminister Dr Ruhakana Ruganda okufuba okulaba nga sabiiti egya buli minister abaawo mu palamenti ademu ebibuuzo ababaka byebazze babuuza nga tewali ayinza kwanukula.
Bweyabadde ayogerera mu palamenti akawungezi akayise, speaker Oulanya yagambye nti baminisita baludde nga bebulankanya,kale nga ssabaminisita agwana abakunganye bonna babeewo sabiiti egya.
Ono agamba nti ebibuuzo bingi ebyetuumye, kale nga ayagala bin bive mu diiro, nate palamenti ebeeko ebirara byekola.