Skip to content Skip to footer

Bannayuganda abakukusibwa abali mu kenya basusse obungi.

Bya Ben Jumbe.

Ekitebe kya Uganda mu Kenya kitegeezeza nga bwekizitoweredwa omuwendo gw’abanayuganda abaleetebwa nga bagezaako okusooba bagende e bunayira

Bwabadde  ayogerera mu nsisinkano y’abakungu ba Kenya ne Uganda abakola ku nsalo, ey’omulundi ogwa 12th omubaka wa Uganda mu Kenya Phibby Otala , yagambye nti ekitono enyo abaana 14 bebaletebwa ku kitebe kino buli lunaku nga bagezaako okuduka mu gwanga kyoka nebakwatibwa

Ono agamba nti okusingira dala abawala balimbibwa nebatwalibwa mu mawanga g’abawarabu okukola, kyoka bwebatuuka eyo nebafuulibwa abaddu, olwo ate nebayiiya okudda .

Ono agamba nti ekitebe tekirina nsimbi zakulabirira bantu nga bano abeetuuma buli kadde, kale nga ayagala government ebeeko kyekola eky’amangu okuduukirira embeera

 

Leave a comment

0.0/5