Skip to content Skip to footer

Omwana abutikibbwa omuti naafa

Bya Kirunda Abubaker,

Abatuuze b’okukyaalo Kagoma mu gombolola ly’e Buwenge mu district y’e Jinja bagudde ekyekango omwaana ow’emyaka 07 nga wa buwala bwakubiddwa omuti gwe papaali negumuttirawo.

Omugenzi ya Rahma Babirye muwala wa Badru Bagole okuva ku kyalo kyekimu.

Sentebe w’ekyaalo Moses Luzze, atubuulidde  nti omwana ono abadde ayimiridde wansi w’omuti guno oluvanyuma ogumugwiridde mu ngeri etali nyangu yakutegerekeka.

Ssentebe agamba nti obuzito bwagwo bwandiba nga bwaguyinze akageri kegubaddeko amapapaali amangi.