Bya Prosy Kisakye
Omubaka wa munisipaali ye Mukono, Betty Nambooze Bakireke alangiridde nga bwagenda okuvuganya ku kifo kya ssentebbe wakabondo kababaka ba palamenti abava mu kitundu kya Buganda.
Okwogera bino, yabadde yakalayira, nate okukiika mu palamenti eyomulundi ogwe 11.
Nambooze, agambye nti ayagala akozese ekifo ekyo okulwanirirra ensonga za Buganda nokuyitimusa obwakabaka.
Mu biralala byatunulidde mu kifo kisanja kino, nti watondebwewo munisipaali ye Mengo.