Skip to content Skip to footer

Abagala obwa sipiika mu NRM balagiddwa bawandikire akakiiko k’ebyokulonda

Bya Musasi Waffe

Olukiiko lw’ekibiina kya NRM olwa waggulu, lusabye abantu bonna abagala okuvuganya ku kifo kyomukubiriza wa palamenti nomumyuka we, okulaga obwagazi bwabwe mu buwandiike, eri akakiiko kekibiina akebyokulonda.

Kino kyatukiddwako olukiiko luno, olwa Central Executive Committee bwerwabadde lutudde mu maka gobwa pulezidenti, Entebbe.

Amawulire amekusifu, agavudde mu lukiikjo luno, kyakanyiizddwako nti bagulewo omukisa eri buli muntu obutabaako gwebasinbira ebbali oba okulemesa.

Kati eri abanaaba bataddeyo okusaba kwabwe eri akakiiko kebyokulonda, CEC bejja okutunulamu bwenaaba etude nga 21 May, ngoluvanyuma amannya gaabwe gaakutwalibwa mu caucus nga 23 May balondeko ekibiina gwekinaaba kisbiddeko.

Wetwogerera, ngembiranye yamaanyi wakati wa Rebecca Kadaga nabadde omumyuka we Jacob Oulanya, bavuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti empya eyomulundi ogwe 11.

Okulonda sipiika nomyuka, kwakuberawo wiiki ejja ku Bbalaza, nga 24 May.

Leave a comment

0.0/5