Bya Ndaye Moses,
Abayizi abasoma obusawo abasoba mu 1,400 batadde wansi ebikola nga Bagala gavumenti ebongeze kunsimbi okuva ku mbalirira eyobuwumbi bwensimbi 11.4 billion okudda ku buwumbi 35 mu mwaka gwe byensimbi ogujja.
Akulira ekibiina omwegatira bano ki Federation for the Uganda medical interns, Dr.Mary Nabwire agambye nti basazeewo okuva ku mirimu yadde minisitule eye byobulamu yabasabye okudda ku mirimu nga gavt bwekola kunsonga zabwe.
Ono agambye nti ebbanga liweze nga abayizi abasoma obusawo bakolera mu mbeera enzibu nawera nti ensonga zabwe bwezitafibwako sibakudda ku mirimu.
Kigambibwa nti abalwadde abawera ebitundu 80% mu malwaliro ga gavt bakolwako bayizi abasoma obusawo.