Bya Ruth Anderah,
Oludda oluwaabi mu musango gwa bawagizi bekibiina kya NUP 36 abali ku misango gyokusangibwa ne bissi lusabye luweebwe obudde lusobole okwetegereza okusaba okwokweyimirira kwebakoze okugya.
Bano leero balabiseeko eri omulamuzi wa kkooti eye kinnamaggye e Makindye Lt General Andrew Gutti ne basaba buto bakkirizibwe okuwoza nga bava wa bweru wa kkomera.
Ku bano kuliko Ali Bukeni aka Nubian Li, Edward Ssebuufu aka Eddie Mutwe nábalala
Okuyita mu munnamateeka wabwe Anthony Wameli basabye bakkirizibwe okweyimirirwa kuba okuva mu mwezi ogwa gatonya tebawozesebwanga kyokka nga basindikibwa mu kkomera.
Wammeli era gambye nti ba client be 4 balwadde kale nga beetaaga okufuna obujanjabi obutegerekeka.
Okusaba kwabwe omulamuzi alagidde nti wakukuwuliriza nga 25th may.