Skip to content Skip to footer

Owemyaka 17 gwebateberezza obubbi bamusse

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Rukiga etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku mwana owemyaka 17, ngono abantu bamaukakanyeko nebamukuba nebamutta nga bamulumiriza okubba ssente akakadde 1 nemitwalo 40.

Omugenzi ye Eric Kamukama, ngabadde mukozi wa lejjaleja ku kyalo Kamuha mu gombolola ye Kamwezi.

Kigambibwa nti omugenzi yabbye ssente zino, okuva ku Patrick Bikanyire, ngoluvanyuma bamukwatidde mu nyumba ya maama we gyabadde yekwese.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi, Elly Maate agambye nti okunonyereza kutandise.

Leave a comment

0.0/5