Skip to content Skip to footer

Ababaka 67 bebakalayira olwaleero

Bya Ivan Ssenabulya

Abababaka abapya 67 bebakalayira, mu kitundu ekisoose mu budde obwokumakya.

Olwaleero okulayiza ababaka abagenda okukiika mu palamenti empya ey’omulundi ogwe 11, kugenda mu maaso mu lunnaku olwokubiri.

Abadde, omukubiriza wa palamenti, eye 10 Rebecca Kadaga, omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kamuli yoomu ku bamaze okulayira.

Kati ono amangu ddala, azeemu okulangirira nti agenda kuvuganya nate ku kifo kya sipiika mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11.

Wetwogerera nga bawumuddemu, wakati mu nkuba nkuba ebatataganyizaamu, wabula bagenda kuddamu.

Ababaka abalaa abalayidde ye Francis Mwijukye owe Buhweju Naome Kabasharira owa munisipaali ye Ntungamo ngono yaliko mu palamenti eyomulundi 9, Geofrey Ekanya owa Tororo North nga naye tabadeewo mu palamenti eyomulundi ogwe 10.

Ababaka abasoba mu 100 nate bebagenda okulayira olwaleero.

 

Leave a comment

0.0/5