
Olwaleero kitegerekese nti poliisi ssi yeyali mu mitambo gy’eby’okwerinda ku Kyaddondo Rugby grounds bbomu weyabwatukira emyaka etaano emabega.
Eyali akulira poliisi y’oku luguudo lwe Jjinja Chemonges Sharif Seiko agambye nti aba kkampuni ya KK beebali bapangisibwa okukuuma ekifo kino era nga n’olunaku lwenyini olw’amaziga, beebali bakuuma
Chemonges ategeezezza kkooti nti yaliwo nga bbomu zibaluka kyokka nga tebalina kyebayinza kukola kubanga obukuumi bwaali mu mikono gy’abakuumi ba KK.
Abantu 13 beebaggulwaako emisnago 76 egy’ettemu , 10 egy’okugezaako okutta abantu, 3 gyabutujju, n’emirala egy’okulumya abantu.
Okuwulira omusango guno kwakugenda mu maaso olunaku lwenkya mu maaso g’omulamuzi Alfonse Owiny Dollo.