
Poliisi ekutte abavubuka babiri ababadde bageezaako okwekalakaasiza ku kijjukizo ky’amefuga g’eggwanga.
Bano babadde basaba nti amateeka g’eby’okulonda gayisibwe ng’okulonda kwa 2016 tekunnaba kutuuka
Robin Wabulembo ne munne Simon Wanyera batambudde okuva e Wandegeya kyokka bagenze okutuuka ku kijjukizo kino nga poliisi yabalinze dda era n’ebatwala nga tebalinnya.
Bano balumirizza gavumenti olw’okugayaala okuyisaamu amateeka n’ekigendererwa ky’okwekuumira mu buyinza.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti bano bakuumirwa ku CPS mu kampala era nga bakubitebya ng’obudde butuuse