
Okuziikula emirambo gy’abantu abaziikibwa mu ntaana z’ekirindi e Bundibuggyo kwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw’enkya.
Abantu abasoba mu 50 beebaziikibwa mu ntaana zino mu mwaka gwa 2014 oluvanyuma lw’abatuuze okugaana okukima emirambo gy’abantu abattibwa.
Omusawo wa poliisi Moses Byaruhanga agambye nti ab’obuyinza bakyusizza endowooza ku aw’okuziika abantu bano nga kati poliisi y’erina okunoonya ettaka.
Byaruhanga anyonyodde nti mu Lukiiko olutudde olwaleero, poliisi esazeewo okukozesa ettaka ly’amaggye eriri ku kitebe kya disitulikiti okuziikako abantu bano.
Abantu bano battibwa mu kiboola mawanga ekyaali e Bundibugyo abaayo gyebesanjagira ebiso.