Skip to content Skip to footer

Omubaka Kyagulanyi awabudde palamenti

Bya Sam Ssebuliba

Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti asabye bakulembeze banne, okukwata ensonga yokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga nobwegendereza era bafeeyo nnyo ku biseera bya Uganda ebyomumaaso.

Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobie Wine, agambye nti ssi kirungi okwanguyirizaako okukyusa ssemateeka we gwanga kulwomuntu omu okusobola okumuzza mu buyinza.

Kuno kwekubadde okuteesa kwe, ngagambye nti  palamenti eyomulundi ogwe 10 erina ekitiibwa kyesobola okunyweza okukuuma ssemateeka we gwanga, okwewala ebyafaayo bye gwanga okweddingana, awatabadde kykyusa bukulembeze mu mirembe.

Leave a comment

0.0/5