Bya Samuel ssebuliba.
Ekitongole ky’amagye ekikesi kiriko abajaasi mukaaga bekisindise mu komera, nga bano babalanze kusasanya byama by’amagye nga tebafunye lukusa.
Bano omukaaga balabiseeko mu kakiiko k’ekitongole kino akakwasisa empisa nga kakubirizibwa Col. Tom Kabuye okukakananga abakalize e Makindye okumala emyezi 2 .
Abasibiddwa kuliko Capt Emmanuel Kyamwiru ,Capt Shemu Nakora, Lt Wilson Kahamba, Lt Ronald Watwaluma, Lt Ronald Kabagambe ne Lt Michael Asiimwe.
Obujulizi obuleetedwa bulaze nga bano bwebaafulumya amawulire ku mitimganano gy’amawulire okuli facebook nga balaga nga amagye bwegaali gakuzizza kko n’okukyusa abamu kubakulu, kyoka nga amateeka gabakugira
Kati bano bawabuddwa okudukira mu kooti yamagye enkulu giyite court martia mu naku 14 zokka.