Bya Kyeyune Moses
Palamenti ezeemu okutuula akawungeezi kano, okuddamu okuteesa ku bbago lyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Bwebabadde bakakomawo, batandikidde ku kulayiza omubaka omugya owe ssaza lya Igara East, Michel Mawanda ngomubaka.
Mawanda yeyadidde owa NRM Andrew Martial,mu bigere.
Speaker wa palamenti Rebecca Kadaga akassaiazza nga bwakitegeddeko nti waliwo abebyokwerinda abazinze omusabirwa.
Ono atadde minister wensonga zomunda mu gwanga ku nninga okunyonyola ku bibaddewo.
Minista Jeje Odonga agambye nti ssi kituufu nti abajaasi babadde munda mu masinzizo.
Okuteesa ku nsonga zino kukyagenda mu maaso ngaboludda oluvuganya gavumenti bino baiwakanya.
Gyebuvuddeko embeera ebadde ya bunkenke, ababaka bwebataamye nebasikambula bebayise abajaasi, okuva mu masinzizo ga palmenti.
Bino byonna okubaawo kyadiridde ababaka okulengera abaserikale nga batudde mukifo ekikolanga eklezia y’ababaka abakatolika nabanglican.
Bino byonna okutandika kyadiridde omubaka Lucy Akello okutegeeza speaker nti aliko abaserikale balengera mubusonda,kale nga teyesiga bukuumi bugenda mu maaso.
Kati omubaka we Amuru, Lucy Akello ategezeza nti waliwo omukyala, omu ku balongoosa munda mu kereziya, amubagulizaako nti waliwo abajaasi ababdde bakukumiddwa munda mu kanisa, kalenga ababdde tebayinza kubeera na kusaba okwemisana olwaleero.
Ono ategezeza nti ddala atuuseeyo neyerabirako, ng’abajaasi bafuuse ekirala bwebakidde ekifo ekitukuvu nebakiriiramu emmere.
Wabula omwogezi wa palamenti Chris Obole agambye nti bonna abaleese abajaasi munda mu palamenti, bajemedde ekiragiro kyomukubiriza Rebecca Kadaga.