Skip to content Skip to footer

Bannamawulire ba Red Paper bayimbuddwa.

Bya Ruth Anderah.

Kooti ya Buganda road kyadaaki eyimbudde banamawulire ba Red Paper bonna kukakalu ka kooti ka bukadde 20 obutabadde bwabuliwo.

Okusalawo kuno kukolebwa omulamuzi wa kooti ya Buganda road Samuel Egonda Ntende
Munamateeka w’akakiiko akakola ku by’empuliziganya Abdul-Salam Waiswa yali yasabada kooti okugaana okuyimbula bano, nga agamba nti bayinza okudamu okukola emisango gyegimu.

Abaakwatibwa kuliko abakulira Red paper 5 okuli Richard Tusiime , Johnson Musinguzi, Patrick Mugumya ne Arinatiwe Rugyendo kko ne Richard Kintu , Ben Byarabaha , Francis Tumusiime ne James Mujuni .
Kati bano bagenda kudda mu kooti nga 19.

Leave a comment

0.0/5