Bya samuel ssebuliba.
E Rubanda police eyigga omusajja wa myaka 29 nga ono agambibwa okudda ku kavuubuka ka myaka 18 n’akakuba okukakana nga akasse.
Reuben Nsabimana yaayigibwa , nga ono kigambibwa nti yazze ku munne Nicholas Turyahebwa bona abatuuze be Rurembo wano e Butare namukuba.
Elli mate nga ono yayogerera Police y’ekigezi agamba nti bano obutakaanya babufunidde ku mwenge mu kabuga ke Butare okukakana nga balwanye.
Mukaseera kano eyakoze obutemu ayigibwa.
