
Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’amateeka olwaleero bakunyizza abakiise b’amaggye mu palamenti ku mivuyo mu kulonda kko n’okutuulira abaana abato mu maggye.
Ababaka okubadde Abdul Katuntu,Sam Otada n’abalala babuuzizza lwaki abakiikirira amaggye bonna beebakadde mu maggye ate nga waliwo abaana abato.
Mu kwanukula, aduumira amaggye Gen Katumba Wamala agambye bagoberera tteeka eritwaala bannamaggye nga n’abalondebwa pulezidenti amala kubakakasa
Akakiiko kano mu kadde kano katunuulidde nnongosereza mu mateeka agafuga okulonda ababaka ba palamenti okusobola okussaamu abalina obulemu ku mibiri.